Matthew 24

Ebikangabwa n’Omulembe Okuggwaako

1Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu, 2 anaye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”

3 bAwo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?”

4Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. 5 cKubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi. 6Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. 7 dAmawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi. 8Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.”

9 e “Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange. 10Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana. 11 fEra bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. 12Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola. 13 gNaye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa. 14 hEra Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”

15 i “Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, 16n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. 17 jAlibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. 18N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe. 19 kNaye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 20Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. 21 lKubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. 22 mSinga ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako. 23 nBwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 24 oKubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25Laba mbalabudde nga bukyali!”

26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 27 pKubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo. 28 qEra mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”

29 r “Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”
30 s “Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 31 tEra alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”

32 “Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 33 uNoolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 34 vDdala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 35 wEggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Olunaku n’Essaawa Tebimanyiddwa

36 x “Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka. 37 yKubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba. 38 zNga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato, 39abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera. 40 aaMu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa. 41 abAbakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba y’emu, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.”

42 ac “Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi. 43 adNaye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira. 44 aeNoolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”

45 af “Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 46 agAlina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 47 ahDdala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ 49 ain’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 51 ajalimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

Copyright information for LugEEEE